Time Plus News

Breaking News, Latest News, World News, Headlines and Videos

Musuubira okujjako Museveni nga mukyali mu kwetiriboosa, Munyagwa asekeredde ab’oludda oluvuganya

EYALI Omubaka wa Kawempe South mu lukiiko lwe Ggwanga olukulu Mubarak Munyagwa Serunga asekeredde abali ku ludda oluvuganya, baayogeddeko nga abali mu kwetiriboosa mu kifo ky’okulaba butya bwe bayinza okujjako Pulezidenti Museveni nga bwe baasuubiza bannaUganda.

Munyagwa agamba nti bano naddala abakulu mu kibiina ekisinga ababaka abangi mu lukiiko lwe Ggwanga olukulu NUP ennaku zino balabikako nga beejalabya mu bintu ebitayamba bannaUganda omuli okusiiba ku maato ku nnyanja nga beeyagala, okukola obubaga buli kadde nga n’obumu tebulina makulu, okutambuza ab’enganda zaabwe ne Mikwano mu mawanga g’ebweru n’ekigendererwa eky’oweyagala bokka n’abokka nga balya sente, ngamba nti bino tebisobola kujjako Museveni okujjako okumuyamba okubeerawo nga nabo bwe beetiriboosa.

“Mbalayirira bwe mugenda bwemutyo bannaUganda bajja kubajjamu obwesige bwe baabatekamu kubanga bbo bali bbali balinda abakulembeze babwe kye bakolawo okujjako Museveni, wabula bagenda okulaba nga mwe muli kweyagala saako n’okulya sente n’abenganda zammwe ekitabakolera.

Mutubuulire okuva akalulu bwe kaggwa mukozeewo ki? Omusango mwagujjayo tegwagenda mu maaso, Temulina nkola nambulukufu gye mulaga nti musobola okukyusa obukulembeze, muwoza “WE ARE REMOVING A DICTATOR” nga muli eri mu mazzi muwuga, mulya byanyanja, emyenge egy’ebbeyi, mwelaga mukwano saako n’obubaga obutaggwa mbasasidde” Munyagwe bwe yagambye.


Yabadde ku ttivvi ya NBS ku Pulogulaamu emanyiddwanga Eagle era n’awagirwa abamu ku bannaUganda ku mikutu emigatta bantu.

Ono ssi yasoose okulumba abakulembeze ba NUP, gye buvuddeko eyali Omubaka Kato Lubwama saako ne Dr. Kiiza Besigye nabo baavayo ne balaga obunafu bwa NUP nga bagamba nti bano bali mu byabwe sso ssi kukyusa Bukulembeze mu Uganda

 

Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com

Source link

Blog - UK News - BlogUK News - BlogUK