Time Plus News

Breaking News, Latest News, World News, Headlines and Videos

Mwewale enjawukana bwe muba mwagala enkulakulana, Kabuleta atemezza ku ba West Nile

Joseph Kabuleta nga ono ye Mukulembeze we kisinde kyaThe National Economic Empowerment Dialogue (NEED) atemezza ku bantu abawangaalira mu kitundu kya West Nile, nti singa banewala enjawukana era ne bakolera wamu enkulakulana mu kitundu kyabwe ejja kubabeerera nnyangu nnyo.

Ono agamba nti eby’enfuna mu kitundu kino bili wansi nnyo bwogerageranya ne bitundu ebilala naye nga kino kivudde ku kuba nti abantu beeno beetemyetemyemu nnyo nga mu mbeera eno tebasobola kwanganga bizibu ebibasibye mu bwavu.

Okwogera yabadde azzeeyo e West Nile omulundi ogw’okubiri mu kawefube gwalimu okusisinkana abakulembeze, abatuuze saako n’abo abaagwa mu kalulu akawedde, nga abazzaamu amaanyi okusobola okulwanirira eby’obugagga ebiri mu kitundu kyabwe basobole okubikozesa okwekulakulanya.

Yagambye nti ekizibu ekisinga obunene eno kya bukulembeze obukyamu obwekutte ekitundu kino, nga abakulembeze beeno tebafuddeyo kuyamba bantu be bakulembera, okujjako okukolagana ne Gavumenti kyokka nga elemeddwa okuzimba amasomero amalungi, amalwaliro, enguudo ne bilala, songa kye bandikoze kwe kuteeka Gavumenti ku nninga ekole ku bizibu ebiluma abantu be bakulembera.


Abatuuze era baakabidde Kabuleta ebizibu omuli ensonga ya bavubuka abatalina mirimu mu kitundu kino, ne bagamba nti bano bandiviirako eby’okwerinda okuba mu katyabaga ssinga tebasalirwa magezi.

“Bwe munaaba bakukulakula saako n’okuva mu bwavu obubayonka obutaaba mulina okukolera awamu kitole, olwo naffe we tujja okujjira tubayambe kubanga bwe muba temuli bumu kitegeeza nti amaloboozi gaba mangi nga tegakwatagana.

Ate era mulina okulaba nga mukyusa abakulembeze abatakola mubajjeyo nga obudde bukyali mutekeyo abo abanabakolera ebibatwala mu maaso.

Bulijjo mpulira nti mwagala namwe babawe Minisitule ye West Nile, ebagasizeewa? Ey’eBunyoro, Luwero ne Karamoja nazo tezirina kye zibayamba okujjako okukozesa ba Minisita abo okubabbako ebyammwe teri kilala” Kabuleta bwe yagambye.

Kabuleta ne kisinde kya NEED bakyagenda mu maaso okutalaaga e Ggwanga lyonna nga baasokera mu  Buganda, Bugisu, Bukedi, Teso, Sebei, Lango, Acholi ne West Nile gye bali kati.

 

Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com

Source link