Time Plus News

Breaking News, Latest News, World News, Headlines and Videos

Temwekubagiza temubangako baavu, Kabuleta asisimudde ab’eWest Nile

Omukulembeze we kisinde kya The National Economic Empowerment Dialogue (NEED) Joseph  Kabuleta asisimudde abantu abawangaalira mu bitundu bya West Nile, nabategeeza nti balekere awo okwekubagiza nti kubanga tebabelangako baavu wabula abantu abali mu buynza bwe Ggwanga be balemeddwa okubafaako okusitula embeera zaabwe mu by’enfuna.

Ono agamba nti abantu beeno obwavu obubayonka obutaaba teabalina kubwekubagiza nnyo kubanga ekyamazima bandibadde bagagga singa babadde bafiibwako abantu be baakwasa okukulembera e Ggwanga lino.

Okwogera bino Kabuleta yabadde asisinkanye abakulembeze saako n’abatuuze mu West Nile ku lw’okusatu mu kawefube gwalimu agenderera okuzzaamu amaanyi bannaUganda basobole okukozesa eby’obugagga ebili mu bitundu byabwe okwekulakunya.

Agamba nti singa abantu mu Uganda bamanya obukulu 0buli mu kukuuma saako n’okukozesa eby’obugagga ebiri mu bitundu byabwe, bannaUganda bandibadde besiimi kubanga Katonda yawa Ensi eno buli kyetaagibwa okusitula embeera z’abantu buli omu jawangaalira.


“Ekizibu kye mulina wano kwe kwetematemamu olw’ebibiina bye by’obufuzi ebibabuutikidde era nga bye mulowolezaamu buli kaseera, kino kibaviiriddeko okwerabira nti mulina ensonga ezibagattira awamu ze mulina okukwatako mwenna zibayambe okwekulakulanya n’obutatwalibwako byammwe nga mutunula.

Bibi eby’enjawukana zammwe ez’ebyobufuzi mulina okuzissa ku bbali bwe muba nga ddala mwagala okuva mu bwavu obubafumbekeddemu” Kabuleta bwe yagambye.

Nga ojjeeko oky’obwavu obuyitiridde mu West Nile abatuuze era bakaabidde Kabuleta embeera amassomero mu kitundu kino gye galimu saako ne by’obulamu, kye baagambye nti nakyo kibakaabiza ludda olw’okuba banoonya we baddukira nga tebalaba.

Ku nsonga eno Kabuleta mu kwanukula yabatemye akakule nabategeeza nti tebiyinza kukyuka kubanga abatuuze b’omukitundu tebabilinaako maanyi n’abusobozi bwa sente okusobola okubikyusa, nga balina kulinda bilagiro kuva Kampla buli kadde.

Ku nsonga ye nguudo embi mu kitundu kino, Kabuleta yabajjukizza nti mu biseera bye mabega Gavumenti ezawakati zawebwanga obuvunanyizibwa okwekolera ku nguudo zaazo nti kyokka kati amaanyi agamu gaabagibwako ne gaddayo mu Gavumenti eyawakati era ne sente ezisolozebwa wansi zisooka kugenda mu ggwanika lya Ggwanga olwo ne bazoozamu ne zilyoka zidda ekileetawo embeera y’obutakola nga bwe zandikoze.

Ekisinde kya NEED mu kiseera kino kimaze okutalaaga ebitundu okuli Buganda, Bugisu, Bukedi, Teso, Sebei, Lango, Acholi ne West Nile mu kawefube w’okusisinkana abakulembeze ne bannabyabufuzi abaagwa mu kalulu akawedde.

 

Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com

Source link